Yokaana
  	

Essuula 1

	Kigambo eyava mu ggulu
1 	Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.
2 	Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.
3 	Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa.
4 	Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu.
5 	Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.
	Yokaana awa obujulizi ku musana
6 	Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana.
7 	Oyo yajja olw'okutegeeza ategeeze eby'omusana, bonna bakkirize ku bubwe.
8 	Oyo si ye musana, wabula okutegeeza eby'o musana.
9 	Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi.
10 	Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera.
11 	Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza.
12 	Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye:
13 	abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.
	Kigambo abeera wamu naffe
14 	Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.
15 	Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.
16 	Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa.
17 	Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo.
18 	Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe, oyo yamutegeeza.
19 	Kuno kwe kutegeeza kwa Yokaana, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti Ggwe ani?
20 	N'ayatula, n'ateegaana; n'ayatula nti Si nze Kristo.
21 	Ne bamubuuza nti Kale lw'oli ani? oli Eriya? N'agamba nti Si nze ye. Ggwe nnabbi oli? N'addamu nti Nedda.
22 	Awo ne bamugamba nti Lw'oli ani? tubaddemu abatutumye. Weeyita ani?
23 	N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.
24 	Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo.
25 	Ne bamubuuza, ne bamugamba nti Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa?
26 	Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti Nze mbatiza n'amazzi: wakati mu mmwe ayimiridde omuntu gwe mutamanyi,
27 	ajja ennyuma wange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye.
28 	Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga.
29 	Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!
30 	oyo gwe nnagamba nti Ennyuma wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.
31 	Nange saamumanya: naye ayolesebwe Isiraeri, kyennava njija nga mbatiza n'amazzi.
32 	Yokaana n'ategeeza ng'agamba nti Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye.
33 	Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaggamba nti Ggwe oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.
34 	Nange ne ndaba, ne ntegeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.
35 	Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'ab'okubayigirizwa be babiri;
36 	n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda!
37 	Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu.
38 	Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti Munoonya ki? Ne bamugamba nti Labbi (amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Omuyigiriza), osula wa?
39 	N'abagamba nti Mujje, munaalabawo. Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi.
40 	Andereya, muganda wa Sirnooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera.
41 	Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti Tulabye Kristo, amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Eyafukibwako amafuta.
42 	N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa, (amakulu gaalyo bwe litegeezebwa nti Peetero).
43 	Olunaku olwaddako yayagala okuvaayo okugenda e Ggaliraaya, n'alaba Firipo: Yesu n'amugamba nti Ngoberera.
44 	Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero.
45 	Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.
46 	Nassanayiri n'amugamba nti Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi? Firipo n'amugamba nti Jjangu olabe.
47 	Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!
48 	Nassanayiri n'amugamba nti Wantegeerera wa? Yesu n'addamu n'amugamba nti Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba.
49 	Nassanayiri n'amuddamu nti Labbi, ggwe Mwana wa Katonda: ggwe Kabaka wa Isiraeri.
50 	Yesu n'addamu n'amugamba nti Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? oliraba ebikulu okukira ebyo.
51 	N'amugamba nti Ddala ddala mbagamba nti Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.
  	 

Essuula 2

	Amazzi gafuuka omwenge
1 	Olunaku olw'okusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo;
2 	Yesu ne bamuyita n'abayigirizwa be ku mbaga.
3 	Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti Tebalina nvinnyo.
4 	Yesu n'amugamba nti Omukyala, Onvunaana ki? ekiseera kyange tekinnaba kutuuka.
5 	Nnyina n'agamba abaweereza nti Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola.
6 	Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukiiza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu.
7 	Yesu n'abagamba nti Amasuwa mugajjuze amazzi. Ne bagajjuza okutuusa ku migo.
8 	N'abagamba nti Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga. Ne bamutwalira.
9 	Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole,
10 	n'amugamba nti Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi: naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano
11 	Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza.
12 	Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be: ne bamalayo ennaku si nnyingi.
13 	Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yelusaalemi.
14 	N'asanga mu yeekaalu abatunda ente n'endiga n'amayiba, n'abawaanyisa effeeza nga batudde:
15 	n'afuula emigwa olukoba, n'abagoba bonna mu yeekaalu, n'endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika embaawo zaabwe;
16 	n'agamba abaali batunda amayiba nti Muggyeewo ebintu bino: muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi.
17 	Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti Obuggya bw'ennyumba yo bulindya.
18 	Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Kabonero ki k'otwolesa akakukoza bino?
19 	Yesu n'addamu n'abagamba nti Mumenye yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu.
20 	Awo Abayudaaya ne boogera nti Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga, naawe oligizimbira ennaku ssatu?
21 	Naye yayogera ku yeekaalu ya mubiri gwe.
22 	Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera.
23 	Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe bwe yakola.
24 	Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna,
25 	era teyeetaaga muntu yenna okutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu.
  	 

Essuula 3

	
1 	Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, mwami mu Bayudaaya:
2 	oyo n'ajja gy'ali ekiro, n'amugamba nti Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula Katonda ng'ali naye.
3 	Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.
4 	Nikoodemo n'amugamba nti Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw'okubiri, n'azaalibwa?
5 	Yesu n'addamu nti Ddala ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
6 	Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo.
7 	Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri.
8 	Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kw'ayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda: bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.
9 	Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti Ebyo biyinza bitya okubaawo?
10 	Yesu n'addamu n'amugamba nti Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo?
11 	Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe.
12 	Bwe mbabuulidde eby'ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu?
13 	Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu ali mu ggulu.
14 	Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa:
15 	buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye.
16 	Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme.okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.
17 	Kubanga Katonda. teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.
18 	Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda.
19 	Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi.
20 	Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.
21 	Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.
22 	Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu nsi y'e Buyudaaya; n'alwayo nabo, n'abatiza.
23 	Naye Yokaana yali ng'abatiriza mu Enoni kumpi n'e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi: ne bajjanga, ne babatizibwanga.
24 	Kubanga Yokaana yali nga tannateekebwa mu kkomera.
25 	Abayigirizwa ba Yokaana n'Omuyudaaya ne baba n'empaka, mu bigambo eby'okutukuza.
26 	Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti Labbi, oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bajja gy'ali.
27 	Yokaana n'addamu n'agamba nti Omuntu tayinza kuganya kigambo kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu.
28 	Mmwe bennyini muli bajulirwa bange nga nnayogera nti Si nze Kristo, naye nga nnatumibwa kumukulembera.
29 	Alina omugole ye awasa: naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza: kale essanyu lyange eryo lituukiridde.
30 	Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala.
31 	Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow'omu nsi aba wa mu nsi, ayogera bya mu nsi: ava mu ggulu ye afuga byonna.
32 	Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe.
33 	Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima.
34 	Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda: kubanga, bw'agaba Omwoyo, tamutegeera.
35 	Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byotma mu mukono gwe.
36 	Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.
  	 

Essuula 4

	Omukazi Omusamaliya asisinkana Omulokozi
1 	Awo Mukama waffe bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti Yesu ayigiriza era nti abatiza bangi okukira Yokaana,
2 	(naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula. abayigirizwa be),
3 	n'ava mu Buyudaaya, n'agenda e Ggaliraaya nate.
4 	Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya.
5 	Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya, kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu:
6 	era mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olugendo, n'amala gatuulirawo ku luzzi, obudde nga ssaawa mukaaga.
7 	Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi: Yesu n'amugamba nti Mpa nnywe.
8 	Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere.
9 	Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya okunywa eri nze omukazi Omusamaliya? (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya.)
10 	Yesu n'addamu n'amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.
11 	Omukazi n'amugamba nti Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu: kale oggya wa amazzi ago amalamu?
12 	Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyaaywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze?
13 	Yesu n'addamu n'amugamba nti Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate:
14 	naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.
15 	Omukazi n'amugamba nti Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme oktmnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okusenanga.
16 	Yesu n'amugamba nti Genda oyite balo, okomewo wano.
17 	Omukazi n'addamu n'amugamba nti Sirina baze. Yesu n'amugamba nti Oyogedde bulungi nti Sirina baze;
18 	kubanga walina babalo bataano, naye gw'olina kaakano si balo: ekyo ky'oyogedde mazima.
19 	Omukazi n'amugamba nti Ssebo, ndaba nti oli nnabbi.
20 	Bajjajjaffe liaasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.
21 	Yesu n'amugamba nti Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi.
22 	Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obttlokozi buva mu Buyudaaya.
23 	Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga.
24 	Katonda gwe Mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.
25 	Omukazi n'amugamba nti Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta): ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna.
26 	Yesu n'amugamba nti Nze nzuuno ayogera naawe.
27 	Amaugu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi : naye tewali muntu eyagamba nti Onoonya ki? oba nti Kiki ekikwogeza naye?
28 	Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abautu nti
29 	Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna: ayinza okuba nga ye Kristo?
30 	Ne bava mu kibuga, ne bajja gy'ali.
31 	Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti Labbi, lya.
32 	Naye n'abagamba nti Nnina ekyokulya kye ndya kye mutamanyi.
33 	Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?
34 	Yesu n'abagamba nti Ekyokulya kyange, kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.
35 	Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze oku tukula okukungulibwa.
36 	Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu.
37 	Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti Asiga mulala, n'akungula mulala.
38 	Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera: abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.
39 	Ab'omu kibuga omwo Abssamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna.
40 	Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo: n'asulayo ennaku bbiri.
41 	Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye,
42 	ne bagamba omukazi nti Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.
43 	Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya.
44 	Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa.
45 	Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga: kubanga nabo baagenda ku mbaga.
46 	Awo n'ajja nate ku Kaana eky'e Ggaliraaya, mwe yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu.
47 	Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa.
48 	Awo Yesu n'amugamba nti Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono.
49 	Omukungu n'amugamba nti Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.
50 	Yesu n'amugamba nti Genda; omwana wo mulamu. Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda.
51 	Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti omwana we mulamu.
52 	Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.
53 	Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti Omwana wo mulamu: ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna.
54 	Kano ke kabonero ak'okubiri nate Yesu ke yakola bwe yava e Buyudaaya okujja e Ggaliraaya.
  	 

Essuula 5

	Akoozimbye awonyezebwa
1 	Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka ku Yerusaalemi.
2 	Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano.
3 	Mu ebyo mwagalamirangamu ekibiina ky'abalwadde, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okubimba:
4 	kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okugendamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe bwe yabanga nabwo.]
5 	Ne wabaawo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka amakumi asatu mu munaana.
6 	Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti Oyagala okuba omulamu?
7 	Omulwadde n'amuddamu nti Ssebo, sirina muutu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera: nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.
8 	Yesu n'amugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule.
9 	Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti.
10 	Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti Leero ssabbiiti, muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.
11 	Naye n'abaddamu nti Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule.
12 	Ne bamubuuza nti Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti Weetikke otambule?
13 	Naye eyawonye nga tamanyi bw'ali: kubanga Yesu yali amaze okugenda, abantu abaali mu kifo kiri nga bangi.
14 	Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu yeekaalu, n'amugamba nti Laba, oli mulamu: toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.
15 	Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamponya.
16 	Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti.
17 	Naye Yesu n'abaddamu nti Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.
18 	Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe ye, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
19 	Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola byonna, n'Omwana by'akola bw'atyo.
20 	Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwe wuunye.
21 	Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa.
22 	Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala omusango gwonna;
23 	bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma.
24 	Ddala ddala mbaganiba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.
25 	Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu 1we baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katoada, n'abo abaliwulira baliba balamu.
26 	Kubanga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye;
27 	era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu.
28 	Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye,
29 	ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.
30 	Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.
31 	Bwe nneetegeeza ebyange nze, okutegeeza kwange si kwa mazima.
32 	Waliwo omulala ategeeza ebyange; nange mmanyi nti ebyange by'ategeeza bya mazima.
33 	Mmwe mwatumira Yokaana naye n'ategeeza amazima.
34 	Naye okutegeeza kw'omuntu sikukkiriza nze: naye njogera ebyo mmwe mulokoke.
35 	Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala ekiseera kitono okusanyukira okutangaala kwe.
36 	Naye okutegeeza kwe nnina kwe kukulu okusinga okwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu gyennyini gye nkola, gye gitegeeza ebyange nga Kitange ye yantuma.
37 	Era Kitange eyaniuma oyo ye yategeeza ebyange. Temwawulira ddoboozi lye n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.
38 	So temulina kigambo kye nga kibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma tgmumukkiriza.
39 	Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange;
40 	era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu.
41 	Siweebwa bantu kitiibwa.
42 	Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu.
43 	Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe muli musembeza.
44 	Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa '-ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka?
45 	Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira.
46 	Kuba sings mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga yampandiikako nze.
47 	Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?
  	 

Essuula 6

	Yesu aliisa enkumi ettaano
1 	Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'agenda emitala, w'ennyanja ey'e Ggaliraaya ey'e Tiberiya.
2 	Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde.
3 	Yesu n'alinnya ku lusozi n'atuula eyo n'abayigirizwa be.
4 	N'Okuyitako, embaga y'Abayudaaya, kwali kunaatera okutuuka.
5 	Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?
6 	Yayogera atyo kumukema, ng'amanyi yekka ky'agenda okukola.
7 	Firipo n'amuddamu nti Emmere egulibwa dinaali ebikumi ebibiri teebabune, buli muntu okulyako akatono.
8 	Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti
9 	Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n'ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi?
10 	Yesu n'agamba nti Mutuuze abantu. Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, omuwendo ng'enkumi ttaano.
11 	Awo Yesu n'atoola emigaati; ne yeebaza; n'agabira bali abatudde; n'ebyennyanja bw'atyo nga bwe baayagala.
12 	Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okubula ekintu.
13 	Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya 'owe baalemwa.
14 	Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.
15 	Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n'addayo nate ku lusozi yekka.
16 	Naye obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja;
17 	ne basaabala mu lyato, baali bawunguka ennyanja okugenda e Kaperunawumu. N'obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali.
18 	Ennyanja n'esiikuuka, omuyaga mungi nga gukunta.
19 	Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'amakumi abiri mu ttaano, oba makumi asatu, ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya.
20 	Naye n'abagamba nti Nze nzuu no, temutya.
21 	Awo ne bakkiriza okumuyingiza mu lyato; amangu ago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
22 	Olunaku olw'okubiri, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja bwe baalaba nga teriiyo lyato ddala, wabula erimu, era nga ne Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye abayigirizwa be nga bagenda bokka,
23 	(naye amaato amalala gaava e Tiberiya nga gagoba kumpi ne gye baaliira emigaati Mukama waffe bwe yamala okwebaza):
24 	awo ekibiina bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu.
25 	Bwe baamulabira emitala w'ennyanja ne bamugamba nti Labbi, ozze ddi wano?
26 	Yesu n'abaddamu n'agamba nti Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta.
27 	Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga KitafFe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.
28 	Awo ne bamugamba nti Tugire tutya okukola emirimu gya Katonda?
29 	Yesu n'addamu n'abagamba nti Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.
30 	Awo ne bamugamba nti Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? okola mulimu ki?
31 	Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu.
32 	Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu.
33 	Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.
34 	Awo ne bamugamba nti Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo.
35 	Yesu n'abagamba nti Nze mmere ey'obulamu: ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono.
36 	Naye n'abagamba nti mundabye, era temukkirizza.
37 	Bud Kitange gw'ampa, alijja gye ndi: ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono.
38 	Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala.
39 	Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero.
40 	Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.
41 	Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyira kubanga yagamba nti Nze mmere eyava mu ggulu.
42 	Ne bagamba nti Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti Nnava mu ggulu?
43 	Yesu n'addamu n'abagamba nti Temwemulugunya mwekka na mwekka.
44 	Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
45 	Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.
46 	Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange.
47 	Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo.
48 	Nze mmere ey'obulamu.
49 	Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa.
50 	Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa.
51 	Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi.
52 	Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?
53 	Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne muntunywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe.
54 	Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
55 	Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala, n'omusaayi gwange kye kyokunywa ddala.
56 	Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye.
57 	Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange bwe ndi omul,amu ku bwa Kitange; bw'atyo andya ye aliba omulamu ku bwange.
58 	Eno ye mmere eyava mu ggulu: si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno alibamulamuemirembe n'emirembe.
59 	Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng'ayigiriza mu Kaperunawumu.
60 	Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?
61 	Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyira kino, n'abagamba nti Kino kibeesittaza?
62 	kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye?
63 	Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.
64 	Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza. Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali.
65 	N'agamba nti Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.
66 	Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate.
67 	Awo Yew n'agamba ekkumi n'ababiri nti Era nammwe mwagala okugenda?
68 	Simooni Peetero n'amuddamu nti Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obularnu obutaggwaawo.
69 	Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.
70 	Yesu n'abaddamu nti Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri, era omu ku mmwe ye setaani?
71 	Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda kumulyamu olukwe, ye omu ku kkumi n'ababiri.
  	 

Essuula 7

	Obutakkiriza bw'abaganda ba Yesu
1 	Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'atambula mu Ggaliraaya: kubanga teyayagala kutambula mu Buyudaaya kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta.
2 	Naye embaga y'Abayudaaya yali enaatera okutuuka, ye y'ensiisira.
3 	Awo baganda be ne bamugamba nti Va wano, ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe emirirnu gyo gy'okola.
4 	Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama wabula nga naye yennyini ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi.
5 	Kubanga ne baganda be tebaamukkiriza.
6 	Awo Yesu n'abagamba nti Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese.
7 	Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu gyayo mibi.
8 	Mmwe mwambuke ku mbaga: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.
9 	Bwe yamala okubagamba ebyo n'asigala e Ggaliraaya.
10 	Naye baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si lwatu, naye nga mu kyama.
11 	Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, ne bagamba nti Ali ludda wa?
12 	Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala ne bagamba ku ye nti Mulungi; abalala ne bagamba nti Nedda, naye akyamya ekibiina.
13 	Naye tewaali yamwogerako watu kubanga baatya Abayudaaya.
14 	Awo mu mbaga wakati Yesu n'ayambuka ku yeekaalu, n'ayigiriza.
15 	Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako?
16 	Awo Yesu n'abaddamu n'agamba nti Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw'oli eyantuma.
17 	Omuntu bw'ayagala okukola oli by'ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange.
18 	Ayogera eby'amagezi ge, anoonya ekitiibwa kye ye: naye anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye.
19 	Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okrmzita?
20 	Ekibiina ne baddamu nti Oliko dayimooni: ani asala amagezi okukutta?
21 	Yesu n'addamu n'agamba nti Nnakola omulimu gumu, nammwe mwenna mwewuunya.
22 	Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja); ne ku ssabbiiti mukomola omuntu.
23 	Omuntu bw'akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okusoba; munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti?
24 	Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga.
25 	Awo abamu ab'omu Yerusaalemi ne bagamba nti Gwe banoonya okutta si ye wuuno?
26 	Naye, laba, ayogera Iwatu, so tebaliiko kye bamugamba. Abakulu bamanyidde ddala ng'ono ye Kristo?
27 	Naye ono tumanyi gy'ava: naye Kristo bw'ajja, tewali ategeera gy'ava.
28 	Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe.
29 	Nze mummanyi; kubanga nava gy'ali, era ye yantuma.
30 	Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka:
31 	Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?
32 	Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata.
33 	Awo Yesu n'agamba nti Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy'ali eyantuma.
34 	Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.
35 	Awo Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani?
36 	Kigambo ki ekyo ky'agamba nti Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo?
37 	Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.
38 	Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe.
39 	Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40 	Awo ab'omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti Mazima, ono ye nnabbi oli.
41 	Abalala ne bagamba nti Ono ye Kristo. Naye abalala ne bagamba nti Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya?
42 	Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali?
43 	Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe.
44 	Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono.
45 	Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti Ekibalobedde ki okumuleeta?
46 	Abambowa ne baddamu nti Tewali muntu eyali ayogedde bw'atyo.
47 	Awo Abafalisaayo ne babaddamu nti Era nammwe abakyamizza?
48 	Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo?
49 	Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa.
50 	Nikoodemo (ye Yajja gy'ali edda, ye munnaabwe; n'abagamba nti
51 	Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n'okutegeera ky'akoze?
52 	Ne baddamu ne bamugamba nti Naawe wava GSaluaaYa? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya,
53 	(Buli muntu n'addayo eka:
  	 

Essuula 8

	Omukazi omwenzi aleetebwa eri Yesu
1 	NayeYesun'agendakulusoziolwa Zeyituuni.
2 	N'akeera mu makya n'ajja nate mu yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy'ali; n'atuula, n'abayigiriza.
3 	Abawandiisi n'Abafalisaayo ne baleeta omukazf gwe bakutte ng'ayenda; ne bamussa wakati,
4 	ne bamugamba nti Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza.
5 	Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe baryo: kale ggwe oyogera otya ku ye?
6 	Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka.
7 	Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti Mu mmwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja.
8 	N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka.
9 	Nabo bwe baawulira ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero: Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati.
10 	Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti Omukyala, bazze wa? tewali asaze kukusinga?
11 	Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.]
12 	Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze mttsana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu.
13 	Awo Abafalisaayo ne bamugamba nti Ggwe weetegeeza wekka; okutegeeza kwo si kwa mazima.
14 	Yesu n'addamu n'abagamba nti Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda.
15 	Mmwe musala omusango ng'omubiri bwe guli; nze sisalira muntu musango.
16 	Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma.
17 	Era naye ne mu mateeka gammwe kyawandiikibwa nti okutegeeza kw'abantu ababiri kwa mazima.
18 	Nze nneetegeeza nzekka, ne Kitange eyantuma ategeeza ebyange.
19 	Awo ne bamugamba nti Kitaawo ali ludda wa? Yesu n'addamu nti Nze temummanyi, newakubadde Kitange. Singa mummanyi nze, ne Kitange mwandimumanye.
20 	Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu yeekaalu: so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.
21 	Awo n'abagamba nate nti Nze ŋŋenda, nammwe mulinnoonya, mulifiira mu kibi kyammwe: nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo.
22 	Awo Abayudaaya ne bagamba nti Anetta, kubanga agamba nti Nze gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo?
23 	N'abagamba nti Mmwe muli ba wansi; nze ndi wa waggulu mmwe muli ba mu nsi muno; nze siri wa mu nsi muno.
24 	Kyennava mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe. Kubanga bwe mutakkiriza nga nze wuuyo, mulifiira mu bibi byammwe.
25 	Awo ne bamugamba nti Ggwe ani? Yesu n'abagamba nti Nga bwe nnabagambanga okuva ku lubereberye.
26 	Nnina bingi eby'okuboogerako n'okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy'ali bye biibyo bye njogera eri ensi.
27 	Tebaategeera ng'abagambye ku Kitaffe.
28 	Awo Yesu n'agamba nti Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuutu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.
29 	N'oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga nzekka; kubanga nkola bulijjo by'asiima.
30 	Bwe yayogera ebigambo ebyo, abantu bangi ne bamukkiriza,
31 	Awo Yesu n'agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala;
32 	era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe.
33 	Ne bamuddamu nti Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna: oyogera otya ggwe nti Mulifuuka ba ddembe?
34 	Yesu n'abaddamu nti Ddala ddala mbagamba nti Buli muntu yenna akola ebibi, ye muddu w'ekibi.
35 	Omuddu tabeerera mu nnyumba mirembe na mirembe: omwana abeerera emirembe n'emirembe.
36 	Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, muliba ba ddembe ddala.
37 	Mmanyi nti muli zzadde lya Ibulayimu: naye musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange tekyeyabya mu mmwe.
38 	Nze njogera bye nnlIaba eri Kitange: kale nammwe mukola bye mwawulira eri kitammwe.
39 	Ne baddamu ne bamugamba nti Ibulayimu ye kitaffe. Yesu n'abagamba nti Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu.
40 	Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby'amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw'atyo.
41 	Mmwe mukola emirimu gya kitammwe. Ne bamugamba nti Ffe tetuli baana beebolereze; tulina Kitaffe omu, ye Katonda.
42 	Yesu n'abagamba nti Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde nze: kubanga nnava eri Katonda, ne njija, so sajja ku lwange nzekka, naye oyo ye yantuma.
43 	Kiki ekibalobedde okutegeera enjogera yange? Kubanga temuyinza kuwulira kigambo kyange.
44 	Mmwe muli ba kitamrnwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w'obulimba.
45 	Naye kubanga njogera amazima, temunzikiriza.
46 	Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima kiki ekibalobedde okunzikiriza?
47 	Owa Katonda awuiira ebigambo bya Katonda; mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda.
48 	Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Tetwogera bulungi ffe nti Ggwe oli Musamaliya, era oliko dayimooni?
49 	Yesu n'addamu nti Siriiko dayimooni; naye nze nzisaamu ekitiibwa Kitange, nammwe temunzisaamu kitiibwa.
50 	Naye nze sinoonya kitiibwa kyange; w'ali anoonya era asala omusango.
51 	Ddala ddala mbagamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange taliraba kufa emirembe n'emirembe.
52 	Abayudaaya ne bamugamba nti Kaakano tutegedde ng'oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n'emirembe.
53 	Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? ne bannabbi baafa: weeyita ani?
54 	Yesu n'addamu nti Bwe nneegulumiza nzekka, okugulumira kwange kuba kwa busa: angulumiza ye Kitange: mmwe gwe mwogerako nti ye Katonda wammwe:
55 	so temumutegeeranga: naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaafaanana nga mmwe, mulimba: naye mmumanyi, era nkwata ekigambo kye.
56 	Ibulayimu jjajjammwe yasanyuka okulaba olunaku lwange; n'alulaba n'asanyuka.
57 	Awo Abayudaaya ne bamugamba nti Tonnaba kuweza myaka makumi ataano, naye Ibulayimu wamulaba?
58 	Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, Nze nga wendi.
59 	Awo ne baddira amayinja okumukuba: naye Yesu ne yeekweka, n'afuluma mu yeekaalu.
  	 

Essuula 9

	Eyazaalibwa nga mulema awonyezebwa
1 	Bwe yali ng'ayita, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.
2 	Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso?
3 	Yesu n'addamu nti Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye.
4 	He kitugwanira okukola emirimu gy'oyo eyantuma, obudde nga misana. Ekiro kijja omuntu mw'atayinziza kukolera.
5 	Bwe mba mu nsi, ndi musana gwa nsi.
6 	Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso,
7 	n'amugamba nti Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu (okutegeezebwa kwakyo nti Eyatumibwa). Awo n'agenda, n'anaaba, n'akomawo ng'alaba.
8 	Awo baliraanwa be n'abaamulabanga edda ng'atudde ng'asabiriza, ne bagamba nti Si ye wuuno eyatuulanga ng'asabiriza?
9 	Abalala ne bagamba nti Ye wuuyo: abalala ne bagamba nti Nedda, naye afaanana naye. Ye n'agamba nti Nze nzuuno.
10 	Awo ne bamugamba nti Kale amaaso go gaazibuka gatya?
11 	Ye n'addamu nti Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula.
12 	Ne bamugamba nti Ali ludda wa oyo? N'agamba nti Simanyi.
13 	Ne bamutwala eri Abafalisaayo oli eyali edda omuzibe w'amaaso.
14 	Naye lwali lwa ssabbiiti olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'amuzibula amaaso.
15 	Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N'abagamba nti Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula.
16 	Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti. Naye abalala ne bagamba nti Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano? Ne wabaawo okwawukana mu bo.
17 	Awo ne bamugamba nate omuzibe w'amaaso nti Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso? Naye n'agamba nti Ye nnabbi.
18 	Kale Abayudaaya tebakkiriza bigambo bye, nga yali muzibe w'amaaso n'azibula, okutuusa lwe baamala okuyita abazadde b'eyazibula
19 	ne bababuuza nga bagamba nti Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w'amaaso? kale kaakano alaba atya?
20 	Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso:
21 	naye bw'alaba kaakano tetumanyi: so n'eyamuzibula amaaso ffe tetumanyi bw'ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka.
22 	Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okulagaana buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro.
23 	Abazadde be kyebaava boogera nti Musajja mukulu; mumubuuze ye.
24 	Awo ne bayita omulundi ogw'okubiri oli omuntu eyali omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti Gulumiza Katonda: ffe tumanyi ng'omuntu oyo alina ebibi.
25 	Ye n'addamu nti Oba ng'alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba.
26 	Awo ne bamugamba nti Yakukola atya? yakuzibula atya amaaso go?
27 	N'abaddamu nti Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira omulundi ogw'okubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be?
28 	Ne bamuvuma, ne bagamba nti Ggwe oli muyigirizwa we: naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.
29 	Ff tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa: naye omuntu oyo tetumumanyi gy'ava.
30 	Omuntu n'addamu n'abagamba nti Kino kitalo! mmwe obutamanya gyava, omuntu eyasobola okunzibula amaaso!
31 	Tumanyi nga Katonda tawulira balina bibi; naye buli muntu atya Katonda, ng'akola ky'ayagala, oyo amuwulira.
32 	Okuva edda n'edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g'omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.
33 	Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kigambo.
34 	Ne baddamu ne bamugamba nti Ggwe wazaalibwa mu bibi byereere, naawe otuyigiriza ffe? Ne bamusindikira ebweru.
35 	Yesu n'awulira nga bamusindikidde ebweru; n'amulaba n'agamba nti Ggwe okkiriza Omwana wa Katonda?
36 	Ye n'addamu, n'agamba nti Mukama wange, ye ani, mmukkirize?
37 	Yesu n'amugamba nti Omulabye, era ayogera naawe ye wuuyo.
38 	Ye n'agamba nti Mukama wange, nzikirizza. N'amusinza.
39 	Yesu n'agamba nti Omusango gwe gwandeeta mu nsi muno, abatalaba balabe, n'abo abalaba babe bazibe ba maaso.
40 	Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti Naffe tuli bazibe ba maaso?
41 	Yesu n'abagamba nti Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo.
  	 

Essuula 10

	Yesu omusumba omulungi
1 	Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi.
2 	Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga.
3 	Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: aziyita endiga ze amannya; azifulumya ebweru.
4 	Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi.
5 	Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala.
6 	Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba.
7 	Awo Yesu n'abagamba nate nti Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga.
8 	Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira.
9 	Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro.
10 	Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi.
11 	Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.
12 	Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya.
13 	Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo.
14 	Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera
15 	nga Kitange bw'antegeera, nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga.
16 	Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu.
17 	Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate.
18 	Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange.
19 	Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo.
20 	Abamu ku bo bangi ne bagamba nti Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki?
21 	Abalala ne bagamba nti Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?
22 	Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo;
23 	Yesu n'atambulira mu yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani.
24 	Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulitire ddala.
25 	Yesu n'abaddamu nti Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze.
26 	Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.
27 	Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera;
28 	nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange.
29 	Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange.
30 	Nze ne Kitange tuli omu.
31 	Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba.
32 	Yesu n'abaddamu nti Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?
33 	Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuwoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.
34 	Yesu n'abaddamu nti Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda?
35 	Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba),
36 	mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yaiukuza, n'amutuma mu nsi, nti Owodde; kubanga ambye nti Ndi Mwana wa Katonda?
37 	Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza.
38 	Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.
39 	Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe.
40 	N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo.
41 	Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bye yayogera ku ono byali bya mazima.
42 	Ne bamukkiririza eyo bangi.
  	 
  	

Essuula 11

	Okufa kwa Lazaaro
1 	Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali;
2 	Malyamu oyo eyasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde.
3 	Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde.
4 	Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo.
5 	Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo.
6 	Awo bwe yawulira ng'alwadde, n'ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu.
7 	Ate n'alyoka agamba abayigirizwa nti Tuddeyo e Buyudaaya. Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?
8 	Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?
9 	Yesu n'addamu nti Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri? Omuutu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno.
10 	Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.
11 	Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba ati Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.
12 	Awo abayigirizwa ne bamugamba nti Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.
13 	Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo.
14 	Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti Lazaalo afudde.
15 	Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy'ali.
16 	Awo Tomasi ayitibwa Didumo n'agamba lxayigirizwa banne nti Naffe tugende tufiire wamu naye.
17 	Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.
18 	Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano;
19 	Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwamwannyinaabwe.
20 	Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju.
21 	Awo Maliza n'agamba Yesu nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.
22 	Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa.
23 	Yesu n'amugamba nti Mwannyoko ajja kuzuukira.
24 	Maliza n'amugamba nti Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero.
25 	Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
26 	Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
27 	N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange: nze nzikirizza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.
28 	Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti Omuyigiriza azze, akuyita.
29 	Naye bwe yawulira, n'agolokoka mangu, n'ajja gy'ali.
30 	Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng'akyali mu kifo Maliza kye yamusa ngamu.
31 	Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo.
32 	Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.
33 	Awo Yesu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n'asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira,
34 	n'agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe, jjangu olabe.
35 	Yesu n'akaaba amaziga.
36 	Awo Abayudaaya ne boogera nti Laba bw'abadde amwagala.
37 	Naye abamu ku bo ne boogera nti Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa?
38 	Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu.
39 	Yesu n'agamba nti Muggyeewo ejjinja. Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.
40 	Yesu n'amugamba nti Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?
41 	Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti Kitange, nkwebaza kubanga wampulira.
42 	Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma.
43 	Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje.
44 	Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mabugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti Mumusumulule, mumuleke agende.
45 	Awo bangi ab'omu Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza.
46 	Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze.
47 	Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi.
48 	Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe.
49 	Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti Mmwe temuliiko kye mumanyi,
50 	so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula.
51 	Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yeus agenda okufiirira eggwanga eryo;
52 	so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana.
53 	Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta.
54 	Awo Yesu n'atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n'avaayo n'agenda mu kifo ekiri okumpi n'eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n'abeera eyo n'abayigirizwa.
55 	Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi Okuyitako nga kukyali, beerongoose.
56 	Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu yeekaalu, nti Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?
57 	Naye bakabona abakulu n'Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw'ategeera w'ali, ababuulire balyoke bamukwate.
  	 

Essuula 12

	Yesu Anaaza ebigere by'abayigirizwa be
1 	Awo bwe zaali nga zisigaddeyo ennaku omukaaga okutuuka ku Kuyitako, Yesu n'ajja e Bessaniya, eyali Lazaalo, Yesu gwe yazuukiza mu bafu.
2 	Awo ne bamufumbirayo emmere ey'ekyeggulo: ne Maliza n'aweereza; naye Lazaalo n'aba omu ku bo abaali batudde naye ku mmere.
3 	Awo Malyamu n'addira laatiri ey'amafuta ag'omugavu, ag'omuwendo omungi ennyo, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'attaanya ebigere bye n'enviiri ze: ennyumba n'ejjula akaloosa ak'amafuta.
4 	Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa be, agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti
5 	Kiki ekirobedde okutunda amafuta gano okugaggyamu eddinaali ebikumi bisatu, okugabira abaavu?
6 	Kale yayogera bw'atyo, si lwa kujjukira abaavu; naye kubanga yali mubbi, ye yayambaliranga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu.
7 	Awo Yesu n'agamba nti Mumuleke agaterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange.
8 	Kubanga abaavu be muli nabo ennaku zonna; naye nze temuli nange ennaku zonna.
9 	Awo abakopi ab'omu Bayudaaya ne bategeera nti gyali: ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu.
10 	Naye bakabona abakulu ne basala amagezi bamutte ne Lazaalo;
11 	kubanga ku lulwe bangi ku Bayudaaya abaagenda, ne bakkiriza Yesu.
12 	Olunaku olw'okubiri ekibiina kinene abaali bazze ku mbaga, bwe baawulira nga Yesu ajja e Yerusaalemi,
13 	ne batwala ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye Kabaka wa Isiraeri.
14 	Naye Yesu bwe yalaba ennyana y'endogoyi, n'agyebereka; nga bwe kyawandiikibwa nti
15 	Totya, muwala wa Sayuuni: laba, Kabaka wo ajja, nga yeeberese omwana gw'endogoyi.
16 	Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng'ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo.
17 	Awo ekibiina ekyali naye bwe yayita Lazaalo okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne kitegeeza.
18 	Era ekibiina kyekyava kigenda okumusisinkana, kubanga baawulira nti yakola akabonero ako.
19 	Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze.
20 	Naye waaliwo Abayonaani abalala mu abo abajja ku mbaga okusinza:
21 	awo bali ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky'omu Ggaliraaya, ne bamubuuza, nga bamugamba nti Ssebo, twagala okulaba Yesu.
22 	Firipo n'ajja n'abuulira Andereya; Andereya n'ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu.
23 	Yesu n'abaddamu, n'agamba nti Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe.
24 	Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi.
25 	Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.
26 	Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabanga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.
27 	Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunziya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino.
	Yesu ayogera ku kufa kwe ku musaalaba
28 	Kitange, gulumiza erinnya lyo. Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate:
29 	Awo ekibiina ekyali kiyimiridewo, bwe kyaliwulira, ne kigamba nti Kubadde kubwatuka: abalala ne bagamba nti Malayika ayogedde.
30 	Yesu n'addamu n'agamba nti Eddoboozi lino terizze ku bwange, naye ku bwammwe.
31 	Kaakano ensi eno esalirwa omusango; kaakano omukulu w'ensi eno anaagoberwa ebweru.
32 	Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna.
33 	Naye yayogera atyo, ng'alaga oktifa bwe kuli kw'agenda okufa.
34 	Awo ekibiina ne kimuddamu nti Tetwawulira mu mateeka nti Kristo abeerera awo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Ono Omwana w'omuntu ye ani?
35 	Awo Yesu n'abagamba nti Esigaddeyo ebiro bitono ng'omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.
36 	Bwe mukyalina omusana mukkirize omusana, mufuuke abaana b'omusana. Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda, n'abeekweka.
37 	Naye newakubadde nga yakola obubonaro bungi obwenkanidde awo mu maaso gaabwe, tebaamukkiriza:
38 	ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe? Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani?
39 	Kyebaava balema okuyinza okukkiriza, kubanga Isaaya yayogera nate nti
40 	Yabaziba amaaso, n'abakakanyaza omutima; Baleme okulaba n'amaaso n'okutegeera n'omutima, Bakyuke, Ndyoke mbawonye.
41 	Ebyo bye yayogera Isaaya, kubanga yalaba ekitiibwa kye: n'ayogera ku ye.
42 	Naye mu bakulu bangi abaamukkiriza, naye olw'Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro:
43 	kubanga baayagala ekitiibwa ky'abantu okukira ekitiibwa kya Katonda.
44 	Yesu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Anzikiriza, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.
45 	Era alaba nze ng'alabye oli eyantuma.
46 	Nze nzize kuba musana mu nsi, buli muntu anzikiriza aleme okutuulanga mu kizikiza.
47 	Naye awulira ebigambo byange, n'atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi.
48 	Agaana nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusaiira emusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira ornusango ku lunaku olw'enkomerero.
49 	Kubanga saayogeranga nze ku bwarage; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bwe ŋŋamba, era bwe njogera.
50 	Nange mmanyi n'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe yaŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera:
  	 

Essuula 13

	Yesu afuuka omuweereza
1 	Naye embaga ey'Okuyitako yali nga tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng'ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu nsi, yabaagala okutuusa enkomerero.
2 	Bwe baali balya emmere ey'ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe,
3 	Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda,
4 	n'ava ku mmere, n'ayambulamu engoye ze; n'addira ekiremba, ne yeesiba ekimyu.
5 	N'alyoka afuka amazzi mu kibya, n'atanula okunaaza abayigirizwa ebigere n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye.
6 	Awo n'ajja eri Simooni Peetero. Naye n'amugamba nti Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere?
7 	Yesu n'addamu n'amugamba ntiKye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.
8 	Peetero n'amugamba nti Tonnaazenga bigere byange emirembe gyonna. Yesu n'amuddamu nti Bwe ssiikunaaze tossa kimu nange.
9 	Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n'emikono n'omutwe.
10 	Yesu n'amugamba nti Anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu: nammwe muli balongoofu naye si mwenna.
11 	Kubanga yamumanya anaamulyamu olukwe; kyeyava ayogera nti Mwenna temuli balongoofu.
12 	Awo bwe yamala okubanaaza ebigere, n'ayambala engoye ze, n'atuula nate, n'abagamba nti Mutegedde kye mbakoze?
13 	Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe: era mwogera bulungi; kubanga bwe ndi.
14 	Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere.
15 	Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.
16 	Ddala ddala mbagamba nti Omuddu tasinga bukulu mukama we; so omutume tasmga bukulu oli eyamutuma.
17 	Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.
18 	Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye.
19 	Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo.
20 	Ddala ddala mbagamba nti Asembeza buli gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze, ng'asembezezza oli eyantuma.
21 	Yesu bwe yamala okwogera bw'atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n'ategeeza, n'ayogera nti Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.
22 	Abayigirizwa ne batunulaganako, nga babuusabuusa gw'ayogeddeko bw'ali.
23 	Waaliwo omu ku bayigirizwa be eyali agalamidde mu kifuba kya Yesu ku rnmere, Yesu gwe yayagalanga.
24 	Awo Simooni Peetero n'awenya oyo, n'amugamba riti Tubuulire gw'ayogeddeko bw'ali.
25 	Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n'amugamba nti Mukama wange, ye ani?
26 	Awo Yesu n'addamu nti Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo. Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti.
27 	Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n'alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti Ky'okola, kola mangu.
28 	Naye ekigambo ekyo tewali muntu ku bo abaali batudde ku mmere eyakitegeera ekikimwogezza.
29 	Kubanga abalala baateerera nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti Gula bye twetaaga eby'oku mbaga; oba awe abaavu ekintu.
30 	Awo bwe yamala okuweebwa ekitole, amangu ago n'afuluma ebweru; bwali nga buzibye.
31 	Awo bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti Kaakano Omwana w'omuntu agulumizibwa, ne Katonda agulumizibwa mu ye;
32 	era Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, era amangu ago anaamugulumiza.
33 	Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34 	Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga.
35 	Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.
36 	Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, ogenda wa? Yesu n'addamu nti Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano; naye olingoberera gye bujja.
37 	Peetero n'amugamba nti Mukama wange, kiki ekindobera okukugoberera kaakano? N'awaayo obulamu bwange ku lulwo.
38 	Yesu n'addamu nti Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw'ononneegaana emirundi esatu.
  	 

Essuula 14

	Yesu ye kkubo, amazima n'obulamu
1 	Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize.
2 	Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.
3 	Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.
4 	Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.
5 	Tomasi n'amugamba nti Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tutimanyi tutya?
6 	Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.
7 	Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye.
8 	Firipo n'amugamba nti Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala.
9 	Yesu n'amugamba nti Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti Tulage Kitaffe?
10 	Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye.
11 	Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka.
12 	Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange.
13 	Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana.
14 	Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.
15 	Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange.
16 	Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe.
17 	Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe.
18 	Siribaleka bamulekwa; nkoma wo gye muli.
19 	Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu.
20 	Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, nammwe mu nze, nange mu mmwe.
21 	Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.
22 	Yuda (atali Isukalyoti; n'amugamba nti Mukama waffe; kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikita ffe, so si eri ensi?
23 	Yesu n'addamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tmaatuulanga gy'ali.
24 	Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.
25 	Ebigambo ebyo mbabuulidde nga nkyali nammwe.
26 	Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.
27 	Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.
28 	Muwulidde bwe mbagambye nti Ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.
29 	Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize.
30 	Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo;
31 	naye ensi etegeere nga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.
  	 

Essuula 15

	Omuzabbibu ogwamazima
1 	Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi.
2 	Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala.
3 	Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye.
4 	Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze.
5 	Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.
6 	Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaainya, bagasuula mu muliro, ne gaggya.
7 	Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga.
8 	Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange.
9 	Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbaagadde mAmwe: mubeerenga mu kwagala kwange.
10 	Bwe mukwata ebiragiro byange, z:iunaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.
11 	Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mumwe, era essanyu lyammwe lituukirire.
12 	Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe.
13 	Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.
14 	Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira.
15 	Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi mukama we by'akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe.
16 	Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.
17 	Mbalagidde bino, mwagalanenga.
18 	Ensi bw'ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe.
19 	Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa.
20 	Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe ba naakikwatanga.
21 	Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'erinnya lyange, kubanga tebamumanyi eyantuma.
22 	Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe.
23 	Ankyawa nze akyawa ne Kitange.
24 	Singa saakolera mu bo mirimu egitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi; naye kaakano balabye ne bankyawa ne Kitange.
25 	Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere.
26 	Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange:
27 	era nammwe mutegeeza ebyange kubanga okuva ku lubereberye mwali nange.
  	 

Essuula 16

1 	Ebyo, mbibabuulidde muleme okusittazibwanga.
2 	Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng'aweerezza Katonda.
3 	N'ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze.
4 	Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.
5 	Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda wa?
6 	Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku.
7 	Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli.
8 	Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango;
9 	olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze;
10 	olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate;
11 	olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango.
12 	Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano.
13 	Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja.
14 	Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.
15 	Byonna byonna Kitange by'ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n'abuulira mmwe.
16 	Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba.
17 	Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?
18 	Kyebaava bagamba nti Kiki kino ky'agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky'agamba.
19 	Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba?
20 	Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku zammwe zirifuuka ssanyu.
21 	Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.
22 	Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammw'e girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu alibaggyako.
23 	Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.
24 	Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
25 	Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibibabuulira ebya Kitange mu lwatu.
26 	Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange;
27 	kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, rnukkirizza nga nnava eri Kitange.
28 	Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange.
29 	Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero.
30 	Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.
31 	Yesu n'abaddamu nti Kaakano mukkirizza?
32 	Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira, buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 	Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.
  	 

Essuula 17

	Yesu yeesabira
1 	Yesu yayogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize:
2 	nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo.
3 	Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo.
4 	Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukome kkerezza.
5 	Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo.
6 	Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo.
7 	Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe:
8 	kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babiganya, ne bategeera mazima nga miava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wanttuna.
9 	Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula bo be wampa; kubanga babo:
10 	era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo.
11 	Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe.
12 	Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era nembazibira, tekubulanga muuntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire.
13 	Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
14 	Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi.
15 	Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi.
16 	Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.
17 	Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima,
18 	Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi.
19 	Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima.
20 	So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe;
21 	bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma.
22 	Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu;
23 	nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze.
24 	Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa.
25 	Kitange Omutuukirivu ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma;
26 	era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.
  	 

Essuula 18

	Yesu mu Gesusemani
1 	Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n'afuluma n'abayigirizwa be ne basomoka akagga Kidulooni, eyali olusuku, n'agenda omwo ye n'abayigirizwa be.
2 	Era ne Yuda amulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo: kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi n'abayigirizwa be.
3 	Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajjayo ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu.
4 	Awo Yesu bwe yamanya ebigambo byonna ebinaamujjira, n'avaayo n'abagamba nti Munoonya ani?
5 	Ne bamuddamu nti Yesu Omunazaaleesi. Yesu n'abagamba nti Nze nzuuno. Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
6 	Awo bwe yabagamba nti Nze nzuuno, ne badda ennyuma ne bagwa wansi.
7 	Ate n'ababuuza omulundi ogw'okubiri nti Munoonya ani? Ne bagamba nti Yesu Omunazaaleesi.
8 	Yesu n'addamu nti Mbabuulidde nti nze nzuuno: kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende:
9 	ekigambo kye yayogera kituukirizibwe nti Ku abo be wampa saabuzaako n'omu.
10 	Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko.
11 	Awo Yesu n'agamba Peetero nti Zzaamu ekitala mu kiraato kyakyo: ekikompe Kitange ky'ampadde, siikinywe?
12 	Awo ekitongole ky'abaserikale, n'omwami waabwe omukulu, n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba,
13 	ne basooka okumutwala eri Ana; kubanga yali mukoddomi wa Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka guli.
14 	Era Kayaafa oyo ye yawa Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira abantu.
15 	Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Awo omuyigirizwa oli yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, n'ayingira ne Yesu ran luggya lwa kabona asinga obukulu;
16 	naye Peetero yali ayimiridde ebweru ku luggi. Awo omuyigirizwa oyo omulala eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n'afuluma n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero.
17 	Awo omuwala oyo omuggazi w'oluggi n'agamba Peetero nti Naawe oli wa mu bayigirizwa ba muntu ono? N'agamba nti Siri waamu.
18 	Abaddu n'abaweereza baali bayimiridde awo nga bakumye omuliro gw'amanda; kuhanga yali mpewo; ne boota omuliro: ne Peetero naye yali nabo ng'ayimiridde ng'ayota omuliro.
19 	Awo kabona asinga obukulu n'abuuza Yesu ebigambo by'abayigirizwa be, n'eby'okuyigiriza kwe.
20 	Yesu n'amuddamu nti nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu.
21 	Ombuuliza ki? buuza abampuliranga, bye nnabagamba: laba, abo bamanyi nze bye nnayogera.
22 	Bwe yayogera ebyo omu ku baweereza eyali amuyimiridde okumpi n'akuba Yesu oluyi n'agamba nti Oddamu oti kabona asinga obukulu?
23 	Yesu n'amuddamu nti Oba Oba njogedde bubi, kinnumirize ekibi: naye oba kirungi, onkubira ki?
24 	Awo Ana n'amuweereza nga musibe eri Kayaafa kabona asinga obukulu.
25 	Ne Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Awo ne bamugamba nti Naawe oli wa mu bayigirizwa be? Ye ne yeegaana n'agamba nti Siri waamu.
26 	Omu ku baddu ba kabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti Nze saakulabye naye mu lusuku muli?
27 	Peetero ne yeegaana nate: amangu ago enkoko n'ekookolima.
28 	Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako.
29 	Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti Musango ki gwe mulanze omuntu ono?
30 	Ne baddamu ne bamugamba nti Omuntu ono singa abadde takoze bubi, tetwandimuleese gy'oli.
31 	Awo Piraato n'abagamba nti Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali. Abayudaaya ne bamugamba nti Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;
32 	ekigambo kya Yesu kituukirizibwe, kye yayogera, ng'alaga okufa kw'agenda okufa bwe kuli.
33 	Awo Piraato n'ayingira nate mu kigango, n'ayita Yesu n'amugamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?
34 	Yesu n'addamu nti Kino okyogedde ku bubwo nantiki balala be bakubuulidde ebigambo byange?
35 	Piraato n'addamu nti Nze ndi Muyudaaya? Ab'eggwanga lyammwe ne bakabona abakulu be bakundeetedde: okoze ki?
36 	Yesu n'addamu nti Obwakabaka Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.
37 	Awo Piraato n'amugamba nti Kale ggwe kabaka? Yesu n'addamu nti Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange.
38 	Piraato n'amugamba nti Amazima kye ki? Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti Siraba musango ku ye.
39 	Naye mulina empisa, nze okubateeranga omu ku Kuyitako: kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?
40 	Awo ne bakaayana, ne bagamba nti Si ono, wabula Balaba. N'oyo Balaba yali munyazi.
  	 

Essuula 19

	
1 	Awo Piraato n'alyoka atwala Yesu n'amukuba emiggo.
2 	Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bamutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu;
3 	ne bajja w'ali ne bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya! ne bamukuba empi.
4 	Piraato n'afuIuma nate ebweru, n'abagamba nti Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.
5 	Awo Yesu n'afuluma, ng'ayambadde engute y'amaggwa n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti Laba omuntu oyo!
6 	Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Komerera, komerera: Piraato n'abagamba nti Mumutwale mmwe mumukomerere: kubanga nze siraba musango ku ye.
7 	Abayudaaya ne bamuddamu nti Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.
8 	Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya;
9 	n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti Oli wa wa? Naye Yesu n'atamuddamu.
10 	Awo Piraato n'amugamba nti Toyogera nange? tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera?
11 	Yesu n'amuddamu nti Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.
12 	Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.
13 	Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo h'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa.
14 	Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti Laba Kabaka wammwe!
15 	Awo bo ne boogerera waggulu nti Muggyeewo, muggyeewo mukomerere. Piraato n'abagamba nti Nnaakomerera Kabaka wammwe? Bakabona abakulu ne baddamu nti Tetulina kabaka wabula Kayisaali.
16 	Awo n'alyoka amubawa okukomererwa. Awo ne batwala Yesu:
17 	n'afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa:
18 	ne bamukomererera awo, era n'abalala babiri wamu naye, eruuyi n'eruuyi, ne Yesu wakati.
19 	Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti YESU OMUNAZAALEESI KABAKA W'ABAYUDAAYA.
20 	Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi.
21 	Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bamugamba Piraato nti Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya.
22 	Piraato n'addamu nti Kye mpandiise kye mpandiise.
23 	Awo basserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale muteeko; n'ekkanzu ye: n'ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu.
24 	Ne bagamba bokka na bokka nti Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo: ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti Baagabana ebyambalo byange, Era baakubira akalulu eky'okwambala kyange. Awo basserikale ne bakola ebyo.
25 	Naye awo awali omusalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene.
26 	Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti Omukyala, laba, omwana wo!
27 	Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti Laba nnyoko! Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.
28 	Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n'agamba nti Nnina ennyonta.
29 	Waali wateekeddwawo ekibya ekkijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe.
30 	Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
31 	Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
32 	Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye:
33 	naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu:
34 	naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi.
35 	Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize.
36 	Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti Talimenyebwa ggumba.
37 	Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti Balimulaba gwe baafumita.
38 	Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggyako omulambo gwa Yesu: awo Piraato n'akkiriza. N'ajja, n'aggyako omulambo gwe.
39 	Ne Nikoodemo n'ajja (eyasooka okujja gy'ali ekiro), ng'aleese ebitabule eby'envumbo ne akaloosi, obuzito bw'abyo laateri nga kikumi.
40 	Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, nga Abayudaaya bwe bayisa okuziika.
41 	Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku; ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu.
42 	Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw'Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu.
  	 

Essuula 20

	Entaana enjereere
1 	Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n'ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n'alaba ng'ejjinja liggiddwa ku ntaana.
2 	Awo n'addukana, n'ajja eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde.
3 	Awo Peetero n'afuluma, n'omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana.
4 	Ne baddukana bombi wamu; n'omuyigirizwa oyo omulala n'ayisa Peetero, n'asooka okutuuka ku ntaana:
5 	n'akutama n'alingizaamu, n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo; nave n'atayingira.
6 	Awo ne Simooni Peetero n'ajja ng'amugoberera, n'ayingira mu ntaana; n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo.
7 	n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye z'ekitaani, nave nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali.
8 	Awo n'omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n'ayingira, n'alaba n'akkiriza.
9 	Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti kimugwanira okuznukira mu bafu.
10 	Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.
11 	Naye Afalyamu yali ayftniridde ebweru awaali entaana ng'akaaba: awo bwe yali ng'akaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana;
12 	n'alaba bamalayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe omulala mirannamiro, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.
13 	Abo ne bamugamba nti Omukyala, okaabira ki? N'abagamba nti Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde.
14 	Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'akyuka ennyuma, n'alaba Yesu ng'ayimiridde, n'atamanya nga ye Yesu.
15 	Yesu n'amugamba nti Omukyala, okaabira ki? onoonya ani? Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo.
16 	Yesu n'amugamba nti Malyamu. N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti Labooni; amakulu gaakyo Muyigiriza.
17 	Yesu n'amugamba nti Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.
18 	Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti Ndabye Mukama waffe; era bw'amugambye ebigambo bino.
19 	Awo ku lunaku luli akawugeezi, ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe.
20 	Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe.
21 	Awo Yesu n'abagamba nate nti Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe.
22 	Bwe yamala okwogera ekyo, n'abassiza omukka, n'abagamba nti Mutoole Omwoyo Omutukuvu:
23 	be munaggyangako ebibi bonna, baggibwako; be munaasibiranga ebibi bonna, basibirwa.
24 	Naye Tomasi omu ku kkunu n'ababiri, eyayitibwanga Didumo, teyali nabo Yesu bwe yajja.
25 	Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti Tulabye Mukama waffe. Nave n'abagamba nti Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono.
26 	Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti Emirembe gibe mu mmwe.
27 	Awo n'agamba Tomasi nti Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza nave akkiriza.
28 	Tomasi n'addamu n'amugamba nti Ggwe Mukama wange, era Katonda wange.
29 	Yesu n'amugamba nti Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.
30 	Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa, obutawandiikiddwa mu kitabo kino;
31 	naye buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n'obulamu mu linnya lye.
  	 

Essuula 21

	Ekyenkya ku nnyanja
1 	Oluvannyuma lw'ebyo Yesu ne yeeraga nate mu bayigirizwa be ku nnyanja eye Tiberiya; ne yeeraga bw'ati.
2 	Baali bali wamu Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow'e Kaana eky'e Ggaliraaya, n'abaana ba Zebbedaayo, n'abagigirizwa be abalala babiri.
3 	Simooni Peetero n'abagamba nti ŋŋenda kuvuba. Ne bamugamba nti Naffe tugenda naawe. Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu.
4 	Naye bwali bukya Yesu n'ayimirira ku ttale: nave abayigirizwa ne batamanya nga ye Yesu.
5 	Awo Yesu n'abagamba nti Abaana, mulina ekyokuliira? Ne bamuddamu nti Tetulina.
6 	N'abagamba nti Musuule omugonjo ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa. Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kuguwalula olw'ebyennyanja ebingi,
7 	Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetera nti Ye Mukama waffe. Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja.
8 	Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri,) nga bawalula omugonjo ogulimu ebyennyanja.
9 	Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati.
10 	Yesu n'abagamba nti Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.
11 	Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira omugonjo ku ttale, nga gujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu: naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, omugonjo ne gutakutuka.
12 	Yesu n'abagamba nti Mujje mulye. So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayannanga okumubuuza nti Ggwe ani, nga bamanyi nga ye Mukama waffe.
13 	Yesu n'ajja, n'addira omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo.
14 	Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti
15 	Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Liisanga abaana b'endiga bange.
16 	N'amugamba nate omulundi ogw'okubiri nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Lundanga endiga zange.
17 	N'amugamba omulundi ogw'okusatu nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogw'okusatu nti Onjagala? N'amugamba nti Mukama wange, ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala. Yesu n'amugamba nti Liisanga endiga zange.
18 	Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n'ogenda gy'oyagala yonna: naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy'otoyagala.
19 	Yayogera bw'atyo, ng'alaga okufa kw'alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'amugamba nti Ngoberera.
20 	Peetero bwe yakyuka, n'alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng'agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey'ekyeggulo, n'agamba nti Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?
21 	Awo Peetero bwe yalaba oyo n'agamba Yesu nti Mukama wange, n'ono aliba ki?
22 	Yesu n'amugamba nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? ggwe goberera nze.
23 	Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b'oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?
24 	Oyo ye muyigirizwa eyategeeza bino, n'awandiika bino; naffe tumanyi ng'okutegeeza kwe kwa mazima.
25 	Nate waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.